English
stringlengths 1
525
| Luganda
stringlengths 1
522
|
---|---|
And when this mortal hath put on immortality, then shall come to pass the saying that is written: Death is swallowed up in victory.
|
Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti Okufa kumiriddwa mu kuwangula.
|
O death, where is thy victory? O death, where is thy sting?
|
Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa?
|
Now the sting of death is sin: and the power of sin is the law.
|
Okuluma kw'okufa kye kibi; n'amaanyi g'ekibi ge mateeka:
|
But thanks be to God, who hath given us the victory through our Lord Jesus Christ.
|
naye Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
|
Therefore, my beloved brethren, be ye steadfast and unmoveable; always abounding in the work of the Lord, knowing that your labour is not in vain in the Lord.
|
Kale, baganda bange abaagalwa, munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng'okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.
|
Corinthians
|
Abakkolinso
|
AND I, brethren, could not speak to you as unto spiritual, but as unto carnal. As unto little ones in Christ.
|
Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo.
|
I gave you milk to drink, not meat; for you were not able as yet. But neither indeed are you now able; for you are yet carnal.
|
Nnabanywesa mata, so si mmere; kubanga mwali temunnagiyinza: naye era ne kaakano temunnagiyinza;
|
For, whereas there is among you envying and contention, are you not carnal, and walk according to man ?
|
kubanga mukyali ba mubiri: kubanga mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n'okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu?
|
For while one saith, I indeed am of Paul; and another, I am of Apollo; are you not men ? What then is Apollo, and what is Paul?
|
Kubanga omuntu bw'ayogera nti Nze ndi wa Pawulo; n'omulala nti Nze ndi wa Apolo; nga temuli bantu buntu?
|
The ministers of him whom you have believed; and to every one as the Lord hath given.
|
Kale Apolo kye ki? ne Pawulo kye ki? Baweereza buweereza ababakkirizisa; era buli muntu nga Mukama waffe bwe yamuwa.
|
I have planted, Apollo watered, but God gave the increase.
|
Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza.
|
Therefore, neither he that planteth is any thing, nor he that watereth; but God that giveth the increase.
|
Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza.
|
Now he that planteth, and he that watereth, ate one. And every man shall receive his own reward, according to his own labour.
|
Naye asiga n'afukirira bali bumu: naye buli muntu aliweebwa empeera ye ye ng'omulimu gwe ye bwe guliba.
|
For we are God's coadjutors: you are God's husbandry; you are God's building.
|
Kubanga Katonda tuli bakozi banne: muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.
|
According to the grace of God that is given to me, as a wise architect, I have laid the foundation; and another buildeth thereon. But let every man take heed how he buildeth thereupon.
|
Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omukoza w'abazimbi ow'amagezi n'asima omusingi; n'omulala n'azimbako. Naye buli muntu yeekuumenga bw'azimbako.
|
For other foundation no man can lay, but that which is laid; which is Christ Jesus.
|
Kubanga tewali muntu ayinza kusima musingi mulala wabula ogwo ogwasimibwa, ye Yesu Kristo.
|
Now if any man build upon this foundation, gold, silver, precious stones, wood, hay, stubble:
|
Naye omuntu yenna bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo omungi, emiti, essubi, ebisasiro;
|
Every man's work shall be manifest; for the day of the Lord shall declare it, because it shall be revealed in fire; and the fire shall try every man's work, of what sort it is.
|
omulimu ogwa buli muntu gulirabisibwa: kubanga olunaku luli luligwolesa, kubanga gulibikkulirwa mu muliro; n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana.
|
If any man's work abide, which he hath built thereupon, he shall receive a reward.
|
Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbako bwe gulibeerawo, aliweebwa empeera.
|
If any man's work burn, he shall suffer loss; but he himself shall be saved, yet so as by fire.
|
Omulimu ogwa buli muntu bwe gulyokebwa, alifiirwa; naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro.
|
Know you not, that you are the temple of God, and that the Spirit of God dwelleth in you ?
|
Temumaayi nga muli yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe?
|
But if any man violate the temple of God, him shall God destroy. For the temple of God is holy, which you are.
|
Omuntu yenna bw'azikirizanga yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe:
|
Let no man deceive himself: if any man among you seem to be wise in this world, let him become a fool, that he may be wise.
|
Omuntu yenna teyeerimbanga; Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi.
|
For the wisdom of this world is foolishness with God. For it is written: I will catch the wise in their own craftiness.
|
Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa ati Akwasa abagezi enkwe zaabwe:
|
And again: The Lord knoweth the thoughts of the wise, that they are vain.
|
era nate nti Mukama ategeera empaka ez'abagezi nga teziriimu.
|
Let no man therefore glory in men.
|
Omuntu yenna kyavanga alema okwenyumiriza mu bantu. Kubanga byonna byammwe;
|
For all things are yours, whether it be Paul, or Apollo, or Cephas, or the world, or life, or death, or things present, or things to some; for all are yours;
|
oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo; byonna byammwe;
|
And you are Christ's; and Christ is God's.
|
nammwe muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda.
|
Corinthians
|
Abakkolinso
|
IF I speak with the tongues of men, and of angels, and have not charity, I am become as sounding brass, or a tinkling cymbal.
|
Bwe njogera n'enaimi z'abantu n’eza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga n'ebitaasa ebisaala.
|
And if I should have prophecy and should know all mysteries, and all knowledge, and if I should have all faith, so that I could remove mountains, and have not charity, I am nothing.
|
Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n'okutegeera kwonna; era bwe mba n'okukkiriza kwonna, n'okuggyawo ne nzigyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu.
|
And if I should distribute all my goods to feed the poor, and if I should deliver my body to be burned, and have not charity, it profiteth me nothing.
|
Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne ssiba na kwagala, nga ssiriiko kye ngasizza.
|
Charity is patient, is kind: charity envieth not, dealeth not perversely; is not puffed up;
|
Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza
|
Is not ambitious, seeketh not her own, is not provoked to anger, thinketh no evil;
|
tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo;
|
Rejoiceth not in iniquity, but rejoiceth with the truth;
|
tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima;
|
Beareth all things, believeth all things, hopeth all things, endureth all things.
|
kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna.
|
Charity never falleth away: whether prophecies shall be made void, or tongues shall cease, or knowledge shall be destroyed.
|
Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo.
|
For we know in part, and we prophesy in part.
|
Kubanga tutegeerako kitundu, era tulagulako kitundu:
|
But when that which is perfect is come, that which is in part shall be done away.
|
naye ebituukirivu bwe birijja, eby'ekitundu birivaawo.
|
When I was a child, I spoke as a child, I understood as a child, I thought as a child. But, when I became a man, I put away the things of a child.
|
Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng'omuto, nnategeeranga ng'omuto, nnalowoozanga ng'omuto: bwe nnakula, ne ndeka eby'obuto.
|
We see now through a glass in a dark manner; but then face to face. Now I know I part; but then I shall know even as I am known.
|
Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulitunulagana n'amaaso: kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala.
|
And now there remain faith, hope, and charity, these three: but the greatest of these is charity.
|
Naye kaakano waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsatule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala.
|
Corinthians
|
Abakkolinso
|
NOW concerning spiritual things, my brethren, I would not have you ignorant.
|
Kale nno, ab'oluganda, eby'ebirabo eby'omwoyo ssaagala mmwe obutabitegeera.
|
You know that when you were heathens, you went to dumb idols, according as you were led.
|
Mumanyi bwe mwali ab'amawanga nga mwakyamizibwanga eri ebifaananyi ebitoogera, nga mukyamizibwa mu ngeri yonna.
|
Wherefore I give you to understand, that no man, speaking by the Spirit of God, saith Anathema to Jesus. And no man can say the Lord Jesus, but by the Holy Ghost.
|
Kyenva mbategeeza nga siwali muntu bw'ayogera mu Mwoyo gwa Katonda agamba nti Yesu akolimiddwa; so siwali muntu ayinza okwogera nti Yesu ye Mukama waffe, wabula mu Mwoyo Omutukuvu.
|
Now there are diversities of graces, but the same Spirit;
|
Naye waliwo enjawulo z'ebirabo, naye Omwoyo ali omu.
|
And there are diversities of ministries, but the same Lord;
|
Era waliwo enjawulo z'okuweereza, era Mukama waffe ali omu.
|
And there are diversities of operations, but the same God, who worketh all in all.
|
Era waliwo enjawulo z'okukola, naye Katonda ali omu, akola byonna mu bonna.
|
And the manifestation of the Spirit is given to every man unto profit.
|
Naye buli muntu aweebwa okulagibwa kw'Omwoyo olw'okugasa.
|
To one indeed, by the Spirit, is given the word of wisdom: and to another, the word of knowledge, according to the same Spirit;
|
Kubanga omulala Omwoyo amuweesa ekigambo eky'amagezi; n'omulala aweebwa ekigambo eky'okutegeeranga, ku bw'Omwoyo oyo:
|
To another, faith in the same spirit; to another, the grace of healing in one Spirit;
|
omulala okukkiriza, ku bw'Omwoyo oyo; n'omulala ebirabo eby'okuwonyanga, ku bw'Omwoyo omu;
|
To another, the working of miracles; to another, prophecy; to another, the discerning of spirits; to another, diverse kinds of tongues; to another, interpretation of speeches.
|
n’omulala okukolanga eby'amagero; n'omulala okubuuliranga; n'omulala okwawulanga emyoyo: omulala engeri z'ennimi; n'omulala okuvvuunuzanga ennimi:
|
But all these things one and the same Spirit worketh, dividing to every one according as he will.
|
naye ebyo byonna Omwoyo oyo omu ye abikola, ng'agabira buli muntu kinnoomu nga ye bw'ayagala.
|
For as the body is one, and hath many members; and all the members of the body, whereas they are many, yet are one body, so also is Christ.
|
Kuba omubiri nga bwe guli ogumu ne guba n'ebitundu ebingi n'ebitundu byonna eby'omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw'atyo.
|
For in one Spirit were we all baptized into one body, whether Jews or Gentiles, whether bond or free; and in one Spirit we have all been made to drink.
|
Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu.
|
For the body also is not one member, but many.
|
Kubanga n'omubiri si kitundu kimu, naye bingi.
|
If the foot should say, because I am not the hand, I am not of the body; is it therefore not of the body ?
|
Ekigere bwe kyogera nti Kubanga siri mukono, siri wa ku mubiri; olwekyo tekibeera ekitali kya ku mubiri.
|
And if the ear should say, because I am not the eye, I am not of the body; is it therefore not of the body ?
|
Era okutu bwe kwogera nti Kubanga siri liiso, siri wa ku mubiri; olwekyo tekubeera okutali kwa ku mubiri.
|
If the whole body were the eye, where would be the hearing? If the whole were hearing, where would be the smelling?
|
Omubiri gwonna singa liiso, okuwulira kwandibadde wa? Gwonna singa kuwulira, okuwunyiriza kwandibadde wa?
|
But now God hath set the members every one of them in the body as it hath pleased him.
|
Naye kaakano Katonda yassaawo ebitundu buli kinnakimu mu mubiri, nga bwe yayagala.
|
And if they all were one member, where would be the body?
|
Era byonna singa kyali kitundu kimu, omubiri gwandibadde wa?
|
But now there are many members indeed, yet one body.
|
Naye kaakano ebitundu biri bingi, naye omubiri gumu.
|
And the eye cannot say to the hand: I need not thy help; nor again the head to the feet: I have no need of you.
|
N'eriiso teriyinza kugamba mukono nti Ggwe sikwetaaga: oba nate omutwe okugamba ebigere nti Mmwe sibeetaaga.
|
Yea, much more those that seem to be the more feeble members of the body, are more necessary.
|
Naye, ekisinga ennyo, ebitundu bino eby'omubiri ebirowoozebwa okubeera ebinafu byetaagibwa:
|
And such as we think to be the less honourable members of the body, about these we put more abundant honour; and those that are our uncomely parts, have more abundant comeliness.
|
n'ebyo eby'oku mubiri bye tulowooza obutaba na kitiibwa nnyo, bye twambaza ekitiibwa ekisinga obungi: n'ebitundu byaffe ebitali birungi bye bisinga okubeera n'obulungi;
|
But our comely parts have no need: but God hath tempered the body together, giving to that which wanted the more abundant honour,
|
naye ebirungi byaffe tebyetaaga: naye Katonda yagattira ddala wamu omubiri, ekitundu ekyabulako ng'akiwa ekitiibwa ekisinga obungi;
|
That there might be no schism in the body; but the members might be mutually careful one for another.
|
walemenga okubeera okwawula mu mubiri; naye ebitundu biyambaganenga bumu byokka na byokka.
|
And if one member suffer any thing, all the members suffer with it; or if one member glory, all the members rejoice with it.
|
Era ekitundu ekimu bwe kibonaabona, ebitundu byonna bibonerabanera wamu nakyo; oba ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bisanyukira wamu nakyo.
|
Now you are the body of Christ, and members of member.
|
Naye mmwe muli mubiri gwa Kristo, n'ebitundu byagwo, buli muntu.
|
And God indeed hath set some in the church; first apostles, secondly prophets, thirdly doctors; after that miracles; then the graces of healing, helps, governments, kinds of tongues, interpretations of speeches.
|
Era Katonda yassaawo mu kkanisa abalala, okusooka batume, ab'okubiri bannabbi, ab'okusatu bayigiriza, nate eby'amagero, nate ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, aboogezi b'ennimi.
|
Are all apostles? Are all prophets? Are all doctors?
|
Bonna batume? bonna bannabbi? bonna bayigiriza? bonna bakola eby'amagero?
|
Are all workers of miracles? Have all the grace of healing? Do all speak with tongues? Do all interpret?
|
bonna balina ebirabo eby'okuwonyanga? bonna boogera ennimi? bonna baavvuunula?
|
But be zealous for the better gifts. And I shew unto you yet a more excellent way.
|
Naye mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era mbalaga ekkubo erisinga ennyo obulungi.
|
Corinthians
|
Abakkolinso
|
DARE any of you, having a matter against another, go to be judged before the unjust, and not before the saints ?
|
Omuntu yenna ku mmwe bw'aba n'ekigambo ku munne, ayaŋŋanga okuwoleza ensonga abatali batuukirivu, so si eri abatukuvu?
|
Know you not that the saints shall judge this world ? And if the world shall be judged by you, are you unworthy to judge the smallest matters ?
|
Oba temumanyi ng'abatukuvu be balisalira ensi omusango? era oba ng'ensi mmwe muligisalira omusango, temusaanira kusala nsonga entono ennyo.
|
Know you not that we shall judge angels ? how much more things of this world ?
|
Temumanyi nga tulisalira bamalayika omusango? tulirema tutya okusala emisango egy'omu bulamu buno?
|
If therefore you have judgments of things pertaining to this world, set them to judge, who are the most despised in the church.
|
Kale bwe muba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, abanyoomebwa mu kkanisa abo be muteekawo?
|
I speak to your shame. Is it so that there is not among you any one wise man, that is able to judge between his brethren ?
|
Njogedde kubakwasa nsonyi. Kiri bwe kityo nti mu mmwe temuyinza kuzuuka muntu mugezi, ayinza okusalira baganda be ensonga,
|
But brother goeth to law with brother, and that before unbelievers.
|
naye ow'oluganda awoze n'ow'oluganda, era ne mu maaso gaabo abatali bakkiriza?
|
Already indeed there is plainly a fault among you, that you have lawsuits one with another. Why do you not rather take wrong? Why do you not rather suffer yourselves to be defrauded?
|
Naye era bwe mutyo mumaze okubaako akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?
|
But you do wrong and defraud, and that to your brethren.
|
Naye mmwe mwennyini mukola bubi, mulyazaamaanya, era n'ab'oluganda.
|
Know you not that the unjust shall not possess the kingdom of God? Do not err: neither fornicators, nor idolaters, nor adulterers,
|
Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga,
|
Nor the effeminate, nor liers with mankind, nor thieves, nor covetous, nor drunkards, nor railers, nor extortioners, shall possess the kingdom of God.
|
newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.
|
And such some of you were; but you are washed, but you are sanctified, but you are justified in the name of our Lord Jesus Christ, and the Spirit of our God.
|
Era abamu ku mnwe mwali ng'abo: naye mwanaazibwa, naye mwatukuzibwa, naye mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe.
|
All things are lawful to me, but all things are not expedient. All things are lawful to me, but I will not be brought under the power of any.
|
Byonna birungi gye ndi; naye byonna tebinsaanira. Byonna birungi gye ndi; naye nze sigenda kufugibwanga kyonna kyonna.
|
Meat for the belly, and the belly for the meats; but God shall destroy both it and them: but the body is not for fornication, but for the Lord, and the Lord for the body.
|
Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya: naye Katonda alibiggyawo byombiriri. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiri:
|
Now God hath both raised up the Lord, and will raise us up also by his power.
|
era Katonda yazuukiza Mukama waffe, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge.
|
Know you not that your bodies are the members of Christ ? Shall I then take the members of Christ, and make them the members of an harlot ? God forbid.
|
Temumanyi ng'emibiri gyammwe bye bitundu bya Kristo? kale nzirirenga ebitundu bya Kristo mbifuule bitundu by'omwenzi? Kitalo.
|
Or know you not, that he who is joined to a harlot, is made one body ? For they shall be, saith he, two in one flesh.
|
Oba temumanyi ng'eyeegatta n'omwenzi gwe mubiri gumu? kubanga ayogera nti Bombiriri banaabeeraaga omubiri gumu.
|
But he who is joined to the Lord, is one spirit.
|
Naye eyeegatta ne Mukama waffe gwe mwoyo gumu.
|
Fly fornication. Every sin that a man doth, is without the body; but he that committeth fornication, sinneth against his own body.
|
Mwewalenga obwenzi. Buli kibi kyonna omuntu ky'akola kiri kungulu ku mubiri; naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye:
|
Or know you not, that your members are the temple of the Holy Ghost, who is in you, whom you have from God; and you are not your own ?
|
Oba temumanyi ng'omubiri gwammwe ye yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe, gwe mulina eyava eri Katonda? nammwe temuli ku bwammwe;
|
For you are bought with a great price. Glorify and bear God in your body.
|
kubanga mwagulibwa na muwendo: kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe.
|
Corinthians
|
Abakkolinso
|
NOW concerning those things that are sacrificed to idols, we know that we all have knowledge. Knowledge puffeth up; but charity edifieth.
|
Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumanyi nga tulina fenna okutegeera. Okutegeera kwegulumizisa, naye okwagala kuzimba.
|
And if any man think that he knoweth any thing, he hath not yet known as he ought to know.
|
Omuntu bw'alowoozanga ng'aliko ky'ategedde, nga tannategeera nga bwe kimugwanira okutegeera;
|
But if any any love God, the same is known by him.
|
naye omuntu bw'ayagala Katonda, oyo ategeerwa ye.
|
Subsets and Splits
No community queries yet
The top public SQL queries from the community will appear here once available.